Poliisi y’e Arua etandikiddewo okunoonyereza ekyaviriddeko abantu basatu (3) nga bonna ba famire emu okufa, olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri. Abaana basangiddwa mu fumbiro nga bafudde ku kyalo Osu cell mu goombolola y’e Arua. Okusinzira ku kitaabwe Khemis Nassa, abafudde kuliko Huda Nassa (P6), Sumaya Nassa (P4) ne Shamim Nassa (P4) nga bonna, babadde bayizi ku […]
Poliisi y’e Arua etandikiddewo okunoonyereza ekyaviriddeko abantu basatu (3) nga bonna ba famire emu okufa, olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.
Abaana basangiddwa mu fumbiro nga bafudde ku kyalo Osu cell mu goombolola y’e Arua.
Okusinzira ku kitaabwe Khemis Nassa, abafudde kuliko Huda Nassa (P6), Sumaya Nassa (P4) ne Shamim Nassa (P4) nga bonna, babadde bayizi ku ssomero lya Arua Primary School.
Poliisi ng’ekulembeddwamu aduumira Poliisi mu kitundu ekyo, Abas Senyonjo, emirambo esobodde okugitwala mu ddwaliro okwekebejjebwa okuzuula ekituufu ekiviriddeko abaana okufa.
Bino byona okubaawo nga nnyabwe ageenze kuziika mu disitulikiti y’e Yumbe.
