MUTUSONYIWE! Okubba Bodaboda mu Kampala, 3 bakwattiddwa n’ebizibiti

©GALAXY

Poliisi mu Kampala ekutte abantu basatu (3) mu kikwekweeto, okufukuuza abantu abakyamu abeegumbulidde okutigomya Bannakampala n’okusinga ddala aba bodaboda. Abakwattiddwa kuliko Muzamir Katende ow’e Namasuba, Asuman Kiyemba ow’e Bujjuko ne Robert Sserunjoji ow’e Kasenge, Nakawuka. Banno bakwattiddwa mu kikwekweeto kya Poliisi olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, okwata abantu bonna abegumbulidde okubba bodaboda mu bitundu bya Kampala […]


Poliisi mu Kampala ekutte abantu basatu (3) mu kikwekweeto, okufukuuza abantu abakyamu abeegumbulidde okutigomya Bannakampala n’okusinga ddala aba bodaboda.

Abakwattiddwa kuliko Muzamir Katende ow’e Namasuba, Asuman Kiyemba ow’e Bujjuko ne Robert Sserunjoji ow’e Kasenge, Nakawuka.

Banno bakwattiddwa mu kikwekweeto kya Poliisi olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, okwata abantu bonna abegumbulidde okubba bodaboda mu bitundu bya Kampala n’emirirwano.

Okusinzira ku kiwandiiko kya Poliisi mu Kampala n’emirirwano, bonna abakwattiddwa bakiriza eby’okubba era mu kiseera kino, bali mu kaduukulu ka Poliisi e Katwe.

Mungeri y’emu Poliisi egambye nti bodaboda ezibibwa, zitemwamu sipeeya, natundibwa mu maduuka agenjawulo mu bitundu bya Kampala.