OMUDUUMIZI w’ekitongole ky’amakomera mu Uganda, Dr. Johnson Byabashaija awaddeyo obukadde 10 eri abantu abasobodde okuyambako okukwata Muhammad Kiddawalime era natibwa mu bitundu bye Masaka. Kiddawalime yattiddwa mu kiro ekyakeesa ku lunnaku Olwokubiri bwe yali ageenze ne munne Musa Galiwango ku kyalo Mukoko mu goombolola y’e Bukulula mu Disitulikiti y’e Kalungu okubba omu ku batuuze, musawo […]
OMUDUUMIZI w’ekitongole ky’amakomera mu Uganda, Dr. Johnson Byabashaija awaddeyo obukadde 10 eri abantu abasobodde okuyambako okukwata Muhammad Kiddawalime era natibwa mu bitundu bye Masaka.

Kiddawalime yattiddwa mu kiro ekyakeesa ku lunnaku Olwokubiri bwe yali ageenze ne munne Musa Galiwango ku kyalo Mukoko mu goombolola y’e Bukulula mu Disitulikiti y’e Kalungu okubba omu ku batuuze, musawo Nakyambadde Reste.
Kinnajjukirwa, Kiddawalime ne munne Galiwango amangu ddala nga batolose mu kkooti y’e Masaka ku misango egyekuusa ku kitta bantu mu bendobendo ly’e Masaka, Dr Byabashaija yatekawo ssente obukadde 10, 10 obwa Uganda ku buli muntu yenna ayinza okubayambako okukwata abatemu abo.
Ku lunnaku Olwokubiri ekiro, Musawo Nakyambadde ng’ayambibwako abatuuze ne Poliisi y’e Mukoko akulemberwa Twinomugisha Steven, basobodde okukwata Kiddawalime nattibwa ate munne Galiwango yaduuse.
Ku nsonga eyo, Dr Byabashaija agamba nti abenyigidde mu kukwata Kiddawalime baweereddwa ssente obukadde 10 ez’obuliwo, bazigabane.
Mungeri y’emu agambye nti asigaza ssente obukadde 10 eri omuntu yenna ayinza okuyamba Poliisi okukwata Galiwango.
