Ssemaka myaka 47 adukidde eri abakulembeze ku goombolola y’e Labori mu disitulikiti y’e Serere okuyambibwa ku mukyala we, asukkiridde okumutulugunya. Peter Oloko agamba nti mukyala we Loyce Ayiko gw’alinamu n’abaana mukaaga, amukuba nnyo naswala mu baana n’abatuuze b’okulya. Agamba nti wadde musajja awomerwa nnyo okunywa ku mwenge kyoka asobodde okukola kyona ekisoboka okusanyusa famire n’omukyala […]
Ssemaka myaka 47 adukidde eri abakulembeze ku goombolola y’e Labori mu disitulikiti y’e Serere okuyambibwa ku mukyala we, asukkiridde okumutulugunya.
Peter Oloko agamba nti mukyala we Loyce Ayiko gw’alinamu n’abaana mukaaga, amukuba nnyo naswala mu baana n’abatuuze b’okulya.
Agamba nti wadde musajja awomerwa nnyo okunywa ku mwenge kyoka asobodde okukola kyona ekisoboka okusanyusa famire n’omukyala obutawankawanka ku nsonga z’omu kisenge.
Mu kiseera kino, ssemaka Oloko alina ebiwuundu mu ffeesi era agamba nti akooye okubwa mukyala we.
Wabula Mathias Elau omu ku bakulembeze ssemaka Peter Oloko gy’agenze okufuna obuyambi, asuubiza okuyingira mu nsonga zabwe era avumiridde eky’abakyala abegumbulidde okutuntuza abasajja baabwe.
Source! Daily Monitor
