NAYE LWAKI! Omukyala attiddwa mu ntiisa mu nimiro, abaana boogedde ekibaddewo

©GALAXY

Poliisi y’e Kisoro etandiise okunoonyereza abantu abatemudde omukyala Nyinamahoro Bieta myaka 35. Nyinamahoro abadde mutuuze ku kyalo Nyabitare Cell mu goombolola y’e Nyakinama mu disitulikiti y’e Kisoro era omulambo gwe gusangiddwa mu nimiro y’ebinjanjalo mu katawuni k’e Nturo. Kigambibwa omugenzi Nyinamahoro yavudde awaka n’abaana be basatu (3) okugeenda okuziika ku lunnaku Olwokutaano era mu kudda […]


Poliisi y’e Kisoro etandiise okunoonyereza abantu abatemudde omukyala Nyinamahoro Bieta myaka 35.

Nyinamahoro abadde mutuuze ku kyalo Nyabitare Cell mu goombolola y’e Nyakinama mu disitulikiti y’e Kisoro era omulambo gwe gusangiddwa mu nimiro y’ebinjanjalo mu katawuni k’e Nturo.

Kigambibwa omugenzi Nyinamahoro yavudde awaka n’abaana be basatu (3) okugeenda okuziika ku lunnaku Olwokutaano era mu kudda awaka, abaana bamulese mu bbaala, bageenze okuddamu okumulaba ng’attiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate, Poliisi esobodde okwekebejja omulambo era etandiise okunoonyereza okuzuula abakoze ettemu eryo.

Mungeri y’emu Maate asabye abatuuze okuyambako Poliisi okwatagana ku nsonga eyo, okuzuula abatemu, abakoze ekikolwa ekyo, bakwatibwe.