Omussomesa ku yunivaasite y’e Makerere Edward Kisuze akwattiddwa era mu kiseera kino ali ku Poliisi y’e Wandegeya. Kisuze okwatibwa kidiridde omuwala Racheal Njeri Njeroge okufulumya ebifaananyi ng’omusomesa (Kisuze) afunvubidde okunywegera ebitundu by’ekyama ng’asinzira mu offisi ye ku kizimbe kya Senate. Okusinzira ku mwogezi wa yunivaasite Ritah Namisango, amangu ddala ng’ebifaananyi bifulumiziddwa, Kisuze yakwattiddwa era akakiiko […]
Omussomesa ku yunivaasite y’e Makerere Edward Kisuze akwattiddwa era mu kiseera kino ali ku Poliisi y’e Wandegeya.

Kisuze okwatibwa kidiridde omuwala Racheal Njeri Njeroge okufulumya ebifaananyi ng’omusomesa (Kisuze) afunvubidde okunywegera ebitundu by’ekyama ng’asinzira mu offisi ye ku kizimbe kya Senate.

Okusinzira ku mwogezi wa yunivaasite Ritah Namisango, amangu ddala ng’ebifaananyi bifulumiziddwa, Kisuze yakwattiddwa era akakiiko katekeddwawo okunoonyereza.
Mungeri y’emu agambye nti Kisuze bamulagidde okudda ebbali kisobozese abali mu kumunoonyerezaako okukola emirimu gyabwe obulungi era alagidde okuwaayo ebintu bya yunivaasite byona.

Kinnajjukirwa, omwezi oguwedde ogw’okusatu, yunivaasite yayimiriza Dr Swizen Kyomuhendo ku bigambibwa nti naye yali asukkiridde okugaanza abayizi ng’abasuubiza okubawa makisi ez’obwereere basobole okuyita ebigezo.
