Poliisi mu disitulikiti y’e Kole etandiise okunoonyereza ku musirikale waabwe eyasaangiddwa nga yetugidde ku muti olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu. Grace Awor myaka 45 abadde musirikale ng’emirimu gye agitambuliza ku Poliisi y’e Aboke Police Post kyoka abadde yabula ku lunnaku olwokubiri sabiti eno nga 17, April, 2018, okutuusa lwe bagudde ku mulambo gwe, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo […]
Poliisi mu disitulikiti y’e Kole etandiise okunoonyereza ku musirikale waabwe eyasaangiddwa nga yetugidde ku muti olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu.
Grace Awor myaka 45 abadde musirikale ng’emirimu gye agitambuliza ku Poliisi y’e Aboke Police Post kyoka abadde yabula ku lunnaku olwokubiri sabiti eno nga 17, April, 2018, okutuusa lwe bagudde ku mulambo gwe, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga gulengejja ku muti.
Okusinzira ku mutuuze David Opio, Omusirikale Awor kati omugeenzi, yandibanga yeyesse era Poliisi erina okunoonyereza lwaki yakikoze.
Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya North Kyoga, David Ongom Mudong agambye nti Poliisi batandikiddewo okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyaviriddeko, omusirikale Awor okwetta.
