Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Dr Kizza Besigye alumbaganye Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okulumya bannansi obwavu. Besigye agamba nti Pulezidenti Museveni okuwa abantu ssente tekigeenda kuyamba kulwanyisa bwavu mu ggwanga lino wabula abantu okweyongera okukaaba. Bwe yabadde ayogera ku nsonga eyo, Besigye yagambye nti Museveni yawadde abatuuze b’e Rukungiri ensimbi […]
Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Dr Kizza Besigye alumbaganye Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okulumya bannansi obwavu.
Besigye agamba nti Pulezidenti Museveni okuwa abantu ssente tekigeenda kuyamba kulwanyisa bwavu mu ggwanga lino wabula abantu okweyongera okukaaba.

Bwe yabadde ayogera ku nsonga eyo, Besigye yagambye nti Museveni yawadde abatuuze b’e Rukungiri ensimbi okwegula eri abalonzi wabula ssi kulwanyisa obwavu kuba abantu bangi nnyo mu ggwanga lino bamukoowa dda n’obukulembeze bwe.

Mu lungereza Besigye yagambye nti “Do you think the poorest people are found in Rukungiri? We all know where the poor are. But he keeps on donating to bribe people’s approval as he is very aware that Ugandans are fed up of his leadership”.
Mungeri y’emu Besigye agamba nti okusinga okuwa abantu ssente n’okusingira ddala abawagizi ba NRM, ssente ezo bandibadde bazeeyambisa okutekawo ebintu ebiyamba abantu bonna omuli amalwaliro, amasomero, amakkolero n’ebintu ebirala.
Bino okubyogera, yasinzidde mu mmisa y’okujjukira Prince Vincent Kimera eyaliko amyuka Pulezidenti wa FDC nga tanaffa mu 2006.
Kinnajjukirwa sabiti ewedde Pulezidenti Museveni yali mu Disitulikiti y’e Rukungiri era yawa abatuuze ebintu ebyenjawulo omwali ssente okulakulanya SACCO zabwe, tulakita okutumbula ebyobulimi, emmotoka okwanguyirwa okutambuza emirimu, bodaboda n’ebintu ebirala, ab’oludda oluvuganya Gavumenti kyebawakanya nga bagamba nti kigendereddwamu ogulirira abalonzi basobole okulonda munna NRM mu kulonda okubindabinda ku ky’omubaka omukyala ow’e Rukungiri oluvanyuma lwa kkooti okusazaamu obuwanguzi bwa Winfred Matsiko.
Mu kiseera kino abaagala ekifo ekyo kuliko Betty Muzanira owa FDC ne Matsiko owa NRM akomyewo.

Okwewandiisa kwalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda nga 2 ne 3 May, kampeyini zakumala ennaku 26 okuva May 4 okutuusa May 29, balonzi balonde ku Lwokuna 31, May, 2018.