Poliisi mu disitulikiti y’e Mubende etandiise okunoonyereza ku ngeri omusajja myaka 35 gye yattiddwamu olwa shs 2,000 olunnaku olw’eggulo ku Mmande. Deo Semugabo abadde omutuuze ku kyalo Nkolabaseka mu ggombolola y’e Nabingoola mu disitulikiti y’e Mubende yattiddwa mu bukambwe. Okusinzira kw’aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mubende Martin Okoyo, bakoze okunoonyereza okusokerwako era abatuuze bagambye nti […]
Poliisi mu disitulikiti y’e Mubende etandiise okunoonyereza ku ngeri omusajja myaka 35 gye yattiddwamu olwa shs 2,000 olunnaku olw’eggulo ku Mmande.
Deo Semugabo abadde omutuuze ku kyalo Nkolabaseka mu ggombolola y’e Nabingoola mu disitulikiti y’e Mubende yattiddwa mu bukambwe.
Okusinzira kw’aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mubende Martin Okoyo, bakoze okunoonyereza okusokerwako era abatuuze bagambye nti mutuuze munabwe Kagambe Yeyiro yakutte bbuloka nagikuba Semugabo ku mutwe olw’okulemwa okumuwa shs 2,000 zabadde amubanja.
Semugabo yatwaliddwa abatuuze mu ddwaliro ekkulu e Mubende nga biwala ttaka era n’afa nga bakamutuusa mu ddwaaliro.
Mu kiseera kino, Kabagambe ali mu kaduukulu ka Poliisi e Mubende era Poliisi ekyagenda mu maaso n’okukola okunoonyereza.
