Mu nsi yonna, omuntu omuguminkiriza atuuka ku birungi bingi ddala era y’emu ku nsonga lwaki omukwano eri abaagalana gukendedde olw’abantu okwagala ebyenfuna ebyamangu n’okusingira ddala abakyala. Agava mu nkuubo galaga Faridah Nakazibwe, asoma amawulire ku NTV atekateeka kwanjula bba Dr. Omar Ssali eri abazadde mu bitundu bye Masaka. Nakazibwe ne Dr. Ssali baakola omukolo ogwefananyirizaako […]
Mu nsi yonna, omuntu omuguminkiriza atuuka ku birungi bingi ddala era y’emu ku nsonga lwaki omukwano eri abaagalana gukendedde olw’abantu okwagala ebyenfuna ebyamangu n’okusingira ddala abakyala.
Agava mu nkuubo galaga Faridah Nakazibwe, asoma amawulire ku NTV atekateeka kwanjula bba Dr. Omar Ssali eri abazadde mu bitundu bye Masaka.

Nakazibwe ne Dr. Ssali baakola omukolo ogwefananyirizaako okwanjula mu kibuga Dubai mu Hotel era gwetabwako abantu batono nnyo.
Kigambibwa omukolo ogwo, gwali gutegekeddwa mu bitundu bye Masaka ne balemesebwa mbu abaali bagaanzi ba Nakazibwe kyoka mu kiseera kino bazeemu okutekateeka omukolo gwe gumu.
Ffe nga 100.2 Galaxy FM singa Nakazibwe atekateeka omukolo okwanjula bba Dr. Omar Ssali mu butongole, tumwagaliza obufumbo obulungi obulimu essannyu n’omukwano.
