Katemba atali musasulire abadde ku Amber Hotel mu Disitulikiti y’e Mukono, malaaya bwakubye endulu okutasibwa ku musajja eyamuguze n’agaana okumusasula. Malaaya Stella Natunduka atabukidde kasitoma John Ddobi okuva mu ggwanga erya Sudan ng’amulumiriza okugaana okusasula ssente ze bakkaanyizako ate ng’amugunze nnyo. Malaaya Natunduka okutabuka, kyasombodde abantu ku woteeri okwekeneenya ebigenda mu maaso era Poliisi yayittiddwa […]
Katemba atali musasulire abadde ku Amber Hotel mu Disitulikiti y’e Mukono, malaaya bwakubye endulu okutasibwa ku musajja eyamuguze n’agaana okumusasula.
Malaaya Stella Natunduka atabukidde kasitoma John Ddobi okuva mu ggwanga erya Sudan ng’amulumiriza okugaana okusasula ssente ze bakkaanyizako ate ng’amugunze nnyo.
Malaaya Natunduka okutabuka, kyasombodde abantu ku woteeri okwekeneenya ebigenda mu maaso era Poliisi yayittiddwa okutawulula obutakaanya.

C/ASP Fabian Baryayamba yakulembeddemu abasirikale okuva ku Poliisi ya Mini Price e Mukono era Malaaya Natunduka n’omusudani Ddobi bakwatiddwa ne Batwalibwa ku Poliisi bagonjole ensonga zabwe.
Malaaya Natunduka bw’abadde awayamu naffe agambye nti bakiriziganyiza emitwalo 15 kyoka amangu ddala nga bakomekereza akaboozi omusajja yamwefulidde era ssente zeyabadde amuwadde (emitwalo 15) zonna n’azimuggyako kwe kusalawo okwekubira enduulu eri batwala woteeri n’okuyita Poliisi okuyambibwa kuba yenna yamwewadde nga bali mu kikolwa.
Ku Poliisi, omusirikale Baryayamba yayingidde mu nsonga zabwe era omusudani Ddobi yakiriza okuwa Malaaya Natunduka emitwalo 15, ensonga ne ziggwa ng’omusajja ayimbuddwa.
Ebifaananyi bwa Bukedde
