AUDIO! Abaana 3 bawambiddwa Entebbe, Poliisi eyogedde ekiddako

©GALAXY

Bya Rashidah Nakaayi Poliisi y’Entebbe etandiise okunoonyereza ku abaana 3 abakyabuze mu kitundu kyabwe era kiteberezebwa nti bawambiddwa ku byalo ebyenjawulo. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omwana eyakasembayo okubula, ye Rema Ndagire era abadde alina omwaka gumu (1) okuva ku kyalo Kasenyi mu disitulikiti y’e Wakiso sabiti ewedde ku Lwomukaaga […]


Bya Rashidah Nakaayi

Poliisi y’Entebbe etandiise okunoonyereza ku abaana 3 abakyabuze mu kitundu kyabwe era kiteberezebwa nti bawambiddwa ku byalo ebyenjawulo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, omwana eyakasembayo okubula, ye Rema Ndagire era abadde alina omwaka gumu (1) okuva ku kyalo Kasenyi mu disitulikiti y’e Wakiso sabiti ewedde ku Lwomukaaga nga 28, April, 2018 era yaggibwa mu maka g’abazadde be.

Owoyesigyire agamba nti Poliisi efunye amawulire nti omwana Ndagire yatwaliddwa abantu abatanamanyika era Poliisi n’abazadde basitukiddemu okunoonyereza ku nsonga y’omwana.