KITALO NNYO! Paasita yetugidde mu nju, omukyala ayogedde ebyama

©GALAXY

Poliisi eyungudde basajja baayo okutandiika okunoonyereza ku kyaviridde Paasita okwetta. Paasita Bernard Barinabo owa Ndego Pentecostal church ku kyalo Kaara mu ggombolola y’e Muko mu disitulikiti y’e Rubanda, yasaangiddwa mu nju ng’alengejja akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano sabiti ewedde nga 27, April, 2018. Wabula okusinzira ku mukyala we, Martha Barinabo, bba abadde alina obutaakanya n’omu ku bantu […]


Poliisi eyungudde basajja baayo okutandiika okunoonyereza ku kyaviridde Paasita okwetta.

Paasita Bernard Barinabo owa Ndego Pentecostal church ku kyalo Kaara mu ggombolola y’e Muko mu disitulikiti y’e Rubanda, yasaangiddwa mu nju ng’alengejja akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano sabiti ewedde nga 27, April, 2018.

Wabula okusinzira ku mukyala we, Martha Barinabo, bba abadde alina obutaakanya n’omu ku bantu abakulemberamu okutandiika e Kanisa.

Ate ssentebbe w’eggombolola y’e Muko, Herbert Byaruhanga agambye nti obutaakanya eri abbo abakulembera e Kanisa, kyandibanga, kyaviriddeko Paasita okwetta.

Ku nsonga eyo, aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Rubanda, Tai Ramathan, agambye nti okwetta kwa Paasita tebayinza kubuusa maaso era bbo nga Poliisi bayungudde basajja baayo okutandiika okunoonyereza.