Eyaliko Pulezidenti wa Forum for Democratic Change (FDC) Rtd Col Dr Kizza Besigye avuddeyo ku bigambo bwa Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ku by’okuleeta abasawo Abacuba mu ggwanga lino. Olunnaku olw’eggulo nga 1, Mayi, 2018 ng’abakozi bakuza olunaku lwabwe mu nsi yonna mu disitulikiti y’e Sembabule, Pulezidenti Museveni yagambye nti abasawo okusiwuuka empisa omuli […]
Eyaliko Pulezidenti wa Forum for Democratic Change (FDC) Rtd Col Dr Kizza Besigye avuddeyo ku bigambo bwa Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ku by’okuleeta abasawo Abacuba mu ggwanga lino.
Olunnaku olw’eggulo nga 1, Mayi, 2018 ng’abakozi bakuza olunaku lwabwe mu nsi yonna mu disitulikiti y’e Sembabule, Pulezidenti Museveni yagambye nti abasawo okusiwuuka empisa omuli okwekalakaasa okutaggwa, abantu ne bafiira mu malwaliro ga Gavumenti n’okutambuza emirimu gyabwe mu ngeri y’omuzannyo zezimu ku nsonga lwaki yakakibwa okusaba abasawo Abacuba okuggya mu ggwanga lino Uganda, okujanjaba abantu mu ggwanga lyona.

Museveni era yakatirizza nti abasawo Abacuba abasuuka mu 500 okuleetebwa mu Uganda, kigeenda kuyamba nnyo okuzaamu empisa abasawo mu ggwanga lino.
Wabula Dr Besigye agamba nti okuleeta abasawo Abacuba kikolwa ekiraga nti Uganda eyongedde okudda emabega.
Besigye eyakavuganya ku bwa Pulezidenti bwa Uganda emirundi 4, agambye nti Gavumenti ya Uganda yandibadde ereeta abakulembeze okuva mu ggwanga erya Cuba okutendeka abasawo abalungi mu ggwanga lino n’okukyusa abakulembeze mu Uganda abalemeddwa okutendeka abasawo abalungi.
Mungeri y’emu agambye nti emyaka 32 Pulezidenti Museveni gy’akulemberedde eggwanga lino, kiswaza okupangisa abasawo okuva mu ggwanga erya Cuba.
Besigye alambuludde “The logical step would be to bring the Cuban leaders who produced the “good doctors” to replace Ugandan leaders that produced the “bad doctors”!
This is the best self-indictment! After 32 years of being in charge of running a country, you export unskilled labour into “slavery” and import Cuban Doctors to run a broken-down healthcare system!
Ugandans must do the logical thing: TAKE OUR COUNTRY BACK!“