MBIKOOYE! Ebya Sheikh Kamoga biwanvuye, kkooti erangiridde 18, May, 2018

©GALAXY

Omulamuzi wa kkooti ejjulirwamu mu Kampala Christopher Madrama alangiridde nga 18, Mayi, 2018 okuwa ensala ye oba kigwanidde okuyimbula eyali akulira abatabuliiki mu ggwanga lino Sheikh Yunus Kamoga. Enkya ya leero Sheikh Kamoga alabiseeko mu kkooti era ayanjulidde omulamuzi ensonga 7 lwaki yandyagadde okuyimbulwa nga bwe yewozaako oluvanyuma lw’okujjulira mu kkooti ku kibonerezo ekyamuweebwa. Ezimu […]


Omulamuzi wa kkooti ejjulirwamu mu Kampala Christopher Madrama alangiridde nga 18, Mayi, 2018 okuwa ensala ye oba kigwanidde okuyimbula eyali akulira abatabuliiki mu ggwanga lino Sheikh Yunus Kamoga.

Enkya ya leero Sheikh Kamoga alabiseeko mu kkooti era ayanjulidde omulamuzi ensonga 7 lwaki yandyagadde okuyimbulwa nga bwe yewozaako oluvanyuma lw’okujjulira mu kkooti ku kibonerezo ekyamuweebwa.

Ezimu ku nsonga, agambye nti alina ebirwadde omuli Alusa, alina obuvunanyizibwa ng’ateekeddwa okutambuza amaka n’okulambika abakiriza, musajja akuliridde ng’ali myaka 66 era aleese abantu 7 okumweyimirirwa omuli eyali omubaka w’e Makindye West Hussein Kyanjo, Sheikh Suleiman Kaketo, omusomesa ku Islamic University in Uganda Imam Idi Kasozi n’abalala.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lilian Omara lusabye omulamuzi obutagezaako wadde kuyimbula Kamoga kuba singa kikolebwa, kiyinza okutataaganya entekateeka zabwe okumanya ekituufu.

Ate munnamateeka wa Sheikh Kamoga, Kagoro Robert agambye nti balina esuubi nti omuntu wabwe bageenda kumuyimbula kuba baleese abantu abatuufu abagwanidde.

Sheikh Kamoga mu kkooti
Sheikh Kamoga mu kkooti

Omulamuzi asobodde okuwuliriza enjuyi zombi era alangiridde nga 18, Mayi, 2018 okuwa ensala ye.

Kinnajjukirwa omwaka oguwedde ogwa 2017 omwezi ogwomunaana, omulamuzi Ezekiel Muhanguzi yasindiika Sheikh Kamoga okusibwa amayisa ng’asingisiddwa omusango gw’obutujju olw’ekitta basiramu ekyali mu ggwanga lino.

Kigambibwa Kamoga yali akulembeddwamu entekateeka zonna ez’okutta abayisiramu n’okufulumya enkalala z’abageenda okuttibwa.

Sheikh Kamoga yazaalibwa ku kyalo Sseeta okumpi ne Kaabasanda mu ssaza ly’e Butambala mu 1952 era yazaalibwa Sheikh Yunus Butannaziba.

Okusoma yakutandikira waka, nga kitaawe Sheikh Butannaziba y’amwesomeseza Kulaani n’ebirala ebikwata ku ddiini y’Obusiraamu okutuusa Kulaani yonna lwe yagikwata mu mutwe n’alyoka amusindika ku ssomero .

Pulayimale yagisomera Nsotoka Islamic Primary School e Ntenjeru mu disitulikiti y’e Kayunga wakati wa 1960 ne 1970.

Bwe yava e Nsotoka, Kamoga yayingira Kampala mu Bilaal Islamic Institute e Bwaise n’asoma eby’eddiini.

We yaviira ku Bilaal mu 1977, Kamoga yali afuuse Sheikh omujjuvu n’atandika okubuulira n’okusomesa eddiini ng’eno bw’akola obusuubuzi.