BASWADDE NNYO! Poliisi ekutte 3 ku by’okunyumya akaboozi n’omulambo

©GALAXY

Poliisi y’e Kasangati ekutte abantu 3 ku by’okutta omusuubuzi w’omu Kampala ku Luwum Street, Elizabeth Nakato, eyali atemera mu myaka 35  n’okunyumya akaboozi n’omulambo. Abakwatiddwa kuliko muganda w’omugenzi Pius Mugambwa myaka 26, Sunday Nsubuga 32 ne Kasim Mpalanyi 37. Okusinzira ku Poliisi, bonna abakwatiddwa bakiriza eby’okutta Nakato eyali omutuuze we Namugongo omwezi oguweddde Ogwokuna nga […]


Poliisi y’e Kasangati ekutte abantu 3 ku by’okutta omusuubuzi w’omu Kampala ku Luwum Street, Elizabeth Nakato, eyali atemera mu myaka 35  n’okunyumya akaboozi n’omulambo.

Abakwatiddwa kuliko muganda w’omugenzi Pius Mugambwa myaka 26, Sunday Nsubuga 32 ne Kasim Mpalanyi 37.

Okusinzira ku Poliisi, bonna abakwatiddwa bakiriza eby’okutta Nakato eyali omutuuze we Namugongo omwezi oguweddde Ogwokuna nga bamukuba ennyondo ku mutwe oluvanyuma ne bamusobyako ng’amaze okufa okubuzabuza obujjulizi nti okutibwa bamusobezaako, okusanyawo omusango gw’obutemu nti yattiddwa n’ennyondo era omulambo gwe gwasulibwa ku kyalo Kakerenge, Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kigambibwa, muganda w’omugenzi Mugambwa yapanga olukwe okutta mukulu we, asobole okumulemesa okutunda ettaka lye, ye ne mikwano gye basobole okulitwala.

Emmotoka y’ekika kya Toyota Premio gye beyambisa okutambuza n’okutta Nakato era omusaayi ogwasigala mu mmotoka, Poliisi gwesobodde okweyambisa okubakwata.

Poliisi egamba nti abakwate mukusooka bategeeza nti omusaayi gwa nkoko eyali esaliddwa abasawo b’ekinaansi kyoka bagututte mu byuma nga bw’abantu.

Mu kiseera kino abakwate bali mu kaduukulu ka Poliisi e Kasangati.