Poliisi ezudde omulambo gwa ssemaka James Wandegeyi atamera mu myaka 55 nga gusuliddwa mu bikajjo okumpi n’amaka ge ku kyalo Wakisi mu ggombolola y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe. Okusinzira ku Poliisi, ssemaka yandibanga yattiddwa ku Ssande ekiro, omulambo gwe ne gusulibwa okumpi n’amaka ge, olunnaku olw’eggulo ku Mmande okubuzabuza obujjulizi era omubiri gw’omugenzi gwasangiddwako […]
Poliisi ezudde omulambo gwa ssemaka James Wandegeyi atamera mu myaka 55 nga gusuliddwa mu bikajjo okumpi n’amaka ge ku kyalo Wakisi mu ggombolola y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.
Okusinzira ku Poliisi, ssemaka yandibanga yattiddwa ku Ssande ekiro, omulambo gwe ne gusulibwa okumpi n’amaka ge, olunnaku olw’eggulo ku Mmande okubuzabuza obujjulizi era omubiri gw’omugenzi gwasangiddwako ebisago n’ebiwundu ku mutwe, emikono n’omugongo.
Wabula mutabani w’omugenzi Abed Masaba alidde obuwuka era awanjagidde Poliisi okunoonyereza okuzuula abenyigidde mu kutta kitaawe.
Ate bbo abatuuze bagamba nti ssemaka Wandegeyi okutibwa, kiyinza okusanyalaza entambuza y’emirimu mu kitundu kyabwe era Poliisi erina okuyamba nnyo okuzuula abakoze ekikolwa ekyo.
Aduumira Poliisi y’e Njeru Christopher Ruhunde, agambye nti ebiwundu ebyasangiddwa ku mugenzi, kiraga nti yakubiddwa era Poliisi etandiise okunoonyereza.
