OKUMALIRA MU MPALE! Yunivaasite eweze okwambala enkunamyo olw’abasomesa okusabbalala n’okuyiika endusu, abawala bogedde

©GALAXY

Yunivaasite esinga obunene mu ggwanga erya Zambia eya University of Zambia mu kibuga Lusaka efulumiza ekiwandiiko ekikambwe, ekirabudde abaana abawala okomya mbagirawo okwambala enkunamyo nga bageenze mu layibulale okusoma ebitabo. Ekiwandiiko, kiteekeddwa ku kisenge kya layibulale era abakulu bagamba nti abaana abawala okwambala enkunamyo, kitengula emitima gy’abasomesa abasajja. Yunivaasite eyo erina abaana abasuuka mu 35,000 […]


Yunivaasite esinga obunene mu ggwanga erya Zambia eya University of Zambia mu kibuga Lusaka efulumiza ekiwandiiko ekikambwe, ekirabudde abaana abawala okomya mbagirawo okwambala enkunamyo nga bageenze mu layibulale okusoma ebitabo.

Ekiwandiiko, kiteekeddwa ku kisenge kya layibulale era abakulu bagamba nti abaana abawala okwambala enkunamyo, kitengula emitima gy’abasomesa abasajja.

Yunivaasite eyo erina abaana abasuuka mu 35,000 kyoka bangi ku baana abawala kigambibwa mbu basukkiridde okusasaanya obuseegu olw’engeri gye bambala.

Wabula abawala bagamba nti ekiragiro ekyo kigendereddwamu kutyobola ddembe lyabwe kuba abasomesa abasajja basobole okwefuga okusinga okubalemesa okwambala enkunamyo zabwe.