KIWEDDE! Omuzimu gw’omugenzi Mowzey Radio baguzimbidde ennyumba, abalambuzi beyongedde

©GALAXY

Ab’enju y’omugenzi Mowzey Radio (Moses Ssekibogo) bakomekereza okuzimba ennyumba ku malaalo g’eyali omwana wabwe. Radio yafa nga 1, Febwali, 2018 ku Case Medical Centre, Kampala era yazikibwa ku kyalo Kagga, Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso ku myaka 35 nga yakubwa kanyama mu bbaala ya Da Bar Entebbe ekyavirako okuffa kwe. Okusinzira ku mawulire agava ku […]


Ab’enju y’omugenzi Mowzey Radio (Moses Ssekibogo) bakomekereza okuzimba ennyumba ku malaalo g’eyali omwana wabwe.

Radio yafa nga 1, Febwali, 2018 ku Case Medical Centre, Kampala era yazikibwa ku kyalo Kagga, Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso ku myaka 35 nga yakubwa kanyama mu bbaala ya Da Bar Entebbe ekyavirako okuffa kwe.

Ennyumba ezimbiddwa
Ennyumba ezimbiddwa

Okusinzira ku mawulire agava ku kyalo Kagga, ab’oluganda lw’omugenzi Radio, bafuna abantu abasuuka mu 10 buli lunnaku okulambula ku malaalo g’omugenzi.

Radio yali ayimba ne Weasel Manizo mu kibiina kyabwe ekya Goodlyfe.

Omugenzi Mowzey Radio ne Weasel Manizo
Omugenzi Mowzey Radio ne Weasel Manizo