Abantu 20 bakakasiddwa nti bafudde olwa ddaamu y’amazzi okwabika mu kiro ekikeseza olwa leero ku kyalo Solai mu ggombolola y’e Nakuru, kilometre 190 okuva mu kibuga Nairobi mu ggwanga erya Kenya. Ddaamu emanyikiddwa nga Patel Dam ya mugagga Patel okuva mu ggwanga erya India era abadde agyeyambisa okufuyira ebirime era okwabika kivudde ku namutikwa w’enkuba […]
Abantu 20 bakakasiddwa nti bafudde olwa ddaamu y’amazzi okwabika mu kiro ekikeseza olwa leero ku kyalo Solai mu ggombolola y’e Nakuru, kilometre 190 okuva mu kibuga Nairobi mu ggwanga erya Kenya.
Ddaamu emanyikiddwa nga Patel Dam ya mugagga Patel okuva mu ggwanga erya India era abadde agyeyambisa okufuyira ebirime era okwabika kivudde ku namutikwa w’enkuba afuddembye okumala essaawa eziwera.
Okusinzira ku bitongole ebikuuma eddembe okuli ekya Poliisi, abantu abasuuka 40 bagiddwayo mu ttaka oluvanyuma lwa mayumba gabwe okugwa era batwaliddwa mu ddwaliro nga bataawa.
Abantu abasuuka mu 2,000 tebasigaza manyumba, amasamba g’ebirime gasanyiziddwawo, eby’omu nju bitwaliddwa n’abafunye ebisago bangi ddala.
Mu kiseera kino emiranga n’ebiwoobe bibuutikidde ekitundu kyona era omuwendo gw’abantu abagenda okufa, gusubirwa okulinya essaawa yonna.
