Bya Nalule Aminah Kyaddaki omukozi ku yunivaasite y’e Makerere eyali yakwatibwa ku by’okunywegera ebitundu by’ekyama, Edward Kisuze ayimbuddwa enkya ya leero, kakalu ka kkooti ka bukadde 2 ez’obuliwo ku Buganda Road wansi w’omulamuzi James Ereemye. Kisuze yagulwako emisango ebiri (2) omuli okwagala okusobya n’okutyoboola ekitiibwa ky’omuwala Rachel Njoroge Njeri eyali omuyizi ku yunivaasite y’e Makerere […]
Bya Nalule Aminah
Kyaddaki omukozi ku yunivaasite y’e Makerere eyali yakwatibwa ku by’okunywegera ebitundu by’ekyama, Edward Kisuze ayimbuddwa enkya ya leero, kakalu ka kkooti ka bukadde 2 ez’obuliwo ku Buganda Road wansi w’omulamuzi James Ereemye.
Kisuze yagulwako emisango ebiri (2) omuli okwagala okusobya n’okutyoboola ekitiibwa ky’omuwala Rachel Njoroge Njeri eyali omuyizi ku yunivaasite y’e Makerere era munnansi wa Kenya nga 13, April, 2018, mu offiisi ye, bwe yali akimyewo ebiwandiiko bye, ku yunivasaaite e Makerere.

Wabula bwe yali asimbiddwa mu kkooti sabiti ewedde ng’akulembeddwamu munnamateeka we Kenneth Munungu, yasaba okweyimirirwa era yegaana emisango gyona.
Enkya ya leero, omulamuzi amuyimbudde ku bukadde 2 ez’obuliwo ate abamweyimiridde okuli Jonathan Muyingo, Steven Semugela, Robert Semanda nga bonna batuuze b’e Ndejje ne Muganda we Dickson Ndaga basabiddwa obukadde 10 buli omu ezitali za buliwo.

Kisuze yakwatibwa nga kivudde ku muwala Njoroge okweyambisa omukutu ogwa Social Medial n’okusingira ddala Face Book, okufulumya ebifaananyi nga Kisuze afunvubidde okunywegera ebitundu by’ekyama ng’asinzira mu offiisi ye ku yunivaasite y’e Makerere.
Mu kkooti ebadde ekubyeko, oludda oluwaabi lukulembeddwamu Viola Tusigwiirwe.
Omulamuzi Ereemye alangiridde nga 28, May, 2018 okutandiika okuwulira omusango gwo.
