Ssemaka atemyetemye mukyala we ebijjambiya n'omwana myeezi etaano (5) ne basigala nga bali mu mbeera mbi oluvannyuma naye ne yetta mu disitulikiti y'e Omoro. Okusinzira ku ssentebbe w'ekyalo Koro, Justine Odong Obiya, ssemaka kati omugenzi Francis Onyango abadde omutuuze ku kyalo Atede atemyetemye mukyala we Betty Angeyo n’omwana ebijjambiya omubiri gwona kyoka ensonga temanyiddwa lwaki […]
Ssemaka atemyetemye mukyala we ebijjambiya n'omwana myeezi etaano (5) ne basigala nga bali mu mbeera mbi oluvannyuma naye ne yetta mu disitulikiti y'e Omoro.
Okusinzira ku ssentebbe w'ekyalo Koro, Justine Odong Obiya, ssemaka kati omugenzi Francis Onyango abadde omutuuze ku kyalo Atede atemyetemye mukyala we Betty Angeyo n’omwana ebijjambiya omubiri gwona kyoka ensonga temanyiddwa lwaki abadde ayagala kusanyawo famire ye.
Ssentebbe agamba nti ssemaka olumaze okutematema ab'omunju ye, yetugidde ku muti okumpi n'amaka ge, ekitabudde abatuuze.
Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa, Patrick Jimmy Okema, Maama n'omwana, bawereddwa ekitanda ku St. Mary's Hospital Lacor mu disitulikiti y'e Gulu okufuna obujanjabi.
Okema agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza ekyaviriddeko ssemaka okutematema mukyala sako naye okwetta.
