NAYE LWAKI! Pulezidenti abikudde ebyama, ababbi bajjudde mu Poliisi n’amaggye, anokoddeyo abamu

©GALAXY

Omukulembeze w'eggwanga erya South Sudan, Salva Kiir Mayardit, alumiriza ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n'amaggye, okulemberamu okunyaga abantu mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo. Salva Kiir bw'abadde mu lukungana lwa Poliisi mu kibuga Juba, agambye nti abangi ku basirikale balemeddwa, okulemberamu okusosowaza ensonga y'amateeka ne basalawo okweyambisa emmundu zabwe, okutigomya abantu nga babba ebintu ebyenjawulo. Kiir agamba […]


Omukulembeze w'eggwanga erya South Sudan, Salva Kiir Mayardit, alumiriza ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n'amaggye, okulemberamu okunyaga abantu mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo.

Salva Kiir Mayardit
Salva Kiir Mayardit

Salva Kiir bw'abadde mu lukungana lwa Poliisi mu kibuga Juba, agambye nti abangi ku basirikale balemeddwa, okulemberamu okusosowaza ensonga y'amateeka ne basalawo okweyambisa emmundu zabwe, okutigomya abantu nga babba ebintu ebyenjawulo.

Kiir agamba nti abantu bangi nnyo batiddwa n'okusingira ddala obudde obw'ekiro mu maka gabwe era ebitongole ebikuuma ddembe birinamu omukono.

Riek Machar Teny Dhurgon
Riek Machar Teny Dhurgon

South Sudan yatabanguka oluvanyuma lwa Pulezidenti Kiir okufuna obutakanya n'eyali omumyuka we Riek Machar Teny Dhurgon era abantu bangi nnyo battiddwa, abamu baduuse mu ggwanga eryo, n'abali mu makkomera bangi nnyo.