Kkooti y’amaggye e Makindye enkya ya leero lw'egenda okuwa ensala yaayo kukusaba okwatekebwayo ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Lubaga era akulembera akabinja ka Bodaboda 2010, Abdullah Kitatta mwayagalira okuyimbulwa asobole okwewozaako ng'ava mu maka ge. Kitatta nga 27, March, 2018 yasaba okweyimirirwa kyoka nga 7, May, 2018, ssentebe wa kkooti y'amagye, Lt. Gen. […]
Kkooti y’amaggye e Makindye enkya ya leero lw'egenda okuwa ensala yaayo kukusaba okwatekebwayo ssentebbe wa National Resistance Movement (NRM) e Lubaga era akulembera akabinja ka Bodaboda 2010, Abdullah Kitatta mwayagalira okuyimbulwa asobole okwewozaako ng'ava mu maka ge.
Kitatta nga 27, March, 2018 yasaba okweyimirirwa kyoka nga 7, May, 2018, ssentebe wa kkooti y'amagye, Lt. Gen. Andrew Gutti yayongezaayo okuwa ensala ye okutuusa olunnaku olwaleero, olwa kkooti obutafuna budde okwekeneenya ensonga zonna lwaki Kitatta ayagala okuva mu kkomera.

Kitatta mu kusaba kwe yategeeza nti musajja alina obuvunanyizibwa ng’abantu bangi nnyo baalina okulabirira, alina ekirwadde ate mu kkomera tasobola kufuna bujanjabi ate eddembe lye erimuweebwa ssemateeka wa Uganda.
Mu ngeri y'emu olunnaku olwaleero, kkooti lw'eddamu okutandiika okuwuliriza emisango gyona egivunanibwa Kitatta ne banne 12 era ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maj Raphael Mugisha, lusubirwa okuleeta abajjulizi abalala abayinza okulumiriza abavunaanibwa.

Kitatta yakwatibwa mu Janwali ne banne aba bodaboda 2010 mu kikwekweeto eky’amaggye oluvanyuma lw’okukwata muganda we Huzairu Kiwalabye ku bigambibwa nti yalina omukono ku nfa ya Francis Ekalungar eyali omubazi w’ebitabo bya Case hospital mu Kampala era omulambo gwe gwasangibwa nga gwokeddwa ebbali w’ekkubo mu bitundu bye Kajjansi, Entebbe, era bagulwako emisango egyenjawulo omuli okusangibwa n’ebintu by’amaggye omuli ebyambalo n’engatto, okusangibwa ne sitoowa y’ebintu y’ebyokulwanyisa n’emisango emirala ate nga bonna bantu babuligyo.
Mu kiseera kino Kitatta ali mu kkomera ly’amagye e Makindye ate banne, bali ku limanda mu kkomera e Luzira.
