100.2 Galaxy FM Zzina, eyiye omusimbi mu bannakatemba abasinga amaannyi mu ggwanga lino, okuli Madrat ne Chiko abakoze nnyo okuyimirizaawo komedi mu Uganda, okubayambako okutekateeka ekivvulu gagadde eky'omulundi ogwokubiri ekya "Nseko-Buseko", ekitegekebwa buli mwaka. Okusinzira ku ndagaano eteekeddwako omukono wakati wa Laadiyo (100.2 Galaxy FM) ne bannakatemba (Madrat ne Chiko), obukadde obukunukiriza mu 25 bwe […]
100.2 Galaxy FM Zzina, eyiye omusimbi mu bannakatemba abasinga amaannyi mu ggwanga lino, okuli Madrat ne Chiko abakoze nnyo okuyimirizaawo komedi mu Uganda, okubayambako okutekateeka ekivvulu gagadde eky'omulundi ogwokubiri ekya "Nseko-Buseko", ekitegekebwa buli mwaka.
Okusinzira ku ndagaano eteekeddwako omukono wakati wa Laadiyo (100.2 Galaxy FM) ne bannakatemba (Madrat ne Chiko), obukadde obukunukiriza mu 25 bwe buteekeddwa mu kivvulu kyabwe, ekigenda okutambuzibwa mu bifo eby'enjawulo.
Madrat ne Chiko basiimye nnyo 100.2 Galaxy FM, okuyamba ennyo abavubuka okutumbula talenti zaabwe omuli abayimbi, bannakatemba awatali kusosola.
Okusinzira ku ntekateeka nga bweyimiridde ey'okutambuza ekivvulu,
27, July, 2018 – Imperial Royale Hotel mu Kampala, okuyingira VIP shs 50,000, VVIP 100,000, ate ate emmeza shs 1000,000.
28, July, 2018 – Satellite Beach e Mukono
29, July, 2018 – Tavan Woods, Kabusu, Kampala.

Ate Manajje wa 100.2 Galaxy FM, Ashraf Ajobe Habib agambye nti laadiyo erina okuwagira abantu bonna abalina talenti kuba kigenda kuyambako mu kulwanyisa ebbula ly'emirimu mu ggwanga lino.
Mungeri y'emu akubiriza abavubuka abalina talenti okomya okwetuulako wabula okuvaayo mu lujjudde okulaga eggwanga kye balina.
