Poliisi ekutte abantu babiri (2) ku by’okutta ssemaka, Safari Sam atemera mu gy’obukulu 42, abadde omutuuze ku kyalo Nyabiyonga mu ggombolola y’e Chibumba mu disitulikiti y’e Kisoro. abakwatiddwa kuliko Enock Mushengezi myaka 30 ne Dusengimana Fotunatusi atemera mu gy’obukulu 32 era bonna batuuze ku kyalo Nyabiyonga. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi […]
Poliisi ekutte abantu babiri (2) ku by’okutta ssemaka, Safari Sam atemera mu gy’obukulu 42, abadde omutuuze ku kyalo Nyabiyonga mu ggombolola y’e Chibumba mu disitulikiti y’e Kisoro.
abakwatiddwa kuliko Enock Mushengezi myaka 30 ne Dusengimana Fotunatusi atemera mu gy’obukulu 32 era bonna batuuze ku kyalo Nyabiyonga.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, abakwatiddwa kigambibwa bakubyekubye Safari okutuusa lwe yafudde era omulambo gwe gwasangiddwa mu takawuni k’e Chibumba ku lunnaku lwomukaaga nga 2, June, 2018.
Maate agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza, okuzuula lwaki ssemaka yatiddwa.