KITALO NNYO! Ssemaka myaka 29 attiddwa mu ntiisa lwa shs 200, Poliisi ebiyingiddemu

©GALAXY

Ssemaka attiddwa mu ntiisa bwakubiddwa musajja munne olw’okugyema okusasula shs 200 mu katawuni k’e Kalongo mu disitulikiti y’e Soroti. Okusinziira ku beerabiddeko nagaabwe nga ssemaka Simon Emugu mayaka 29 attibwa, yabadde ne banne 3 nga bali mu kuzannya zzaala owa matatu kyoka omu ku bannabwe Robert Enunu nawangula, omugenzi Emugu nagaana okuwaayo ssente (200), ekyatabangudde […]


Ssemaka attiddwa mu ntiisa bwakubiddwa musajja munne olw’okugyema okusasula shs 200 mu katawuni k’e Kalongo mu disitulikiti y’e Soroti.

Okusinziira ku beerabiddeko nagaabwe nga ssemaka Simon Emugu mayaka 29 attibwa, yabadde ne banne 3 nga bali mu kuzannya zzaala owa matatu kyoka omu ku bannabwe Robert Enunu nawangula, omugenzi Emugu nagaana okuwaayo ssente (200), ekyatabangudde embeera.

Okulwanagana, kwatandikiddewo era Robert Enunu eyabadde abanja shs 200, yakwatiddewo akambe, nafumitafumita Emugu, nafirawo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye East Kyoga, Michael Odongo, Poliisi etandiise okunoonyereza ku kyaviriddeko ettemu eryo.

Kigambibwa mu bitundu bye Teso abavubuka bangi tebalina mirimu era bangi basalawo okuzannya zzaala okusobola okufuna ensimbi okwebezaawo n’okutambuza amaka gabwe.