ANTI ALL WHITE! DJ Nimrod akigadde, ategese ekivvulu makeke, abayimbi bonna abalina Work bakakasiza

©GALAXY

Kyaddaki DJ Nimrod omukozi ku 100.2 Galaxy FM Zzina pulogulamu Mid Morning Tukoone ne Kirabu Amnesia ayongedde okulaga eswagga n’okuwa abantu essannyu mu ngeri ezenjawulo. DJ Nimrod mu Uganda y’omu ku basinga okutabula omuziki, ekimufudde DJ owenjawulo nnyo n’okusikiriza abavubuka okuyingira omulimu gwo. Mu nkola y’okukyakalira awamu, DJ Nimrod ategese ekivvulu gagadde ekitumiddwa ” All […]


Kyaddaki DJ Nimrod omukozi ku 100.2 Galaxy FM Zzina pulogulamu Mid Morning Tukoone ne Kirabu Amnesia ayongedde okulaga eswagga n’okuwa abantu essannyu mu ngeri ezenjawulo.

DJ Nimrod mu Uganda y’omu ku basinga okutabula omuziki, ekimufudde DJ owenjawulo nnyo n’okusikiriza abavubuka okuyingira omulimu gwo.

Mu nkola y’okukyakalira awamu, DJ Nimrod ategese ekivvulu gagadde ekitumiddwa ” All White DJ Nimrod singles Beach Party” ku Spenah Beach nga 17, June, 2018, okuyingira shs 10,000.

Ekivvulu kiteekeddwamu ssente kampuni ezenjawulo omuli 100.2 Galaxy FM, Kagwirawo, Ecobank, Movit, Uganda Waragi ne kampuni endala.

Mungeri y’emu abayimbi bangi nnyo abayitiddwa okukyamula abantu omuli Bebecool, chance Nalubega, Fik Fameica, Kabako, Vampino, Nina roz, Gravity, Spice Diana, Khalifa Aganaga, Eddy wizzy, Madrat and Chiko, Mr.Mosh, B2C, Lydia Jazimine, Aziz Azion, Lil Pazo n’abalala bangi nnyo.