Poliisi mu Kampala ekutte ssemaka abadde akulembeddemu okutta muwala we, atemera mu myaka 8. Ssemaka Shaban Musasizi yakwattiddwa ku by’okusibira omwana we mu nnyumba ku kyalo Sempa Zone, e Luwafu mu ggombolola y’e Makindye. Omwana Shilat Namusasizi abadde agongobadde, asuzibwa wansi ku mukeeka, tawebwa byakulya ng’asemberedde okufa. Okusinzira ku ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala […]
Poliisi mu Kampala ekutte ssemaka abadde akulembeddemu okutta muwala we, atemera mu myaka 8.
Ssemaka Shaban Musasizi yakwattiddwa ku by’okusibira omwana we mu nnyumba ku kyalo Sempa Zone, e Luwafu mu ggombolola y’e Makindye.
Omwana Shilat Namusasizi abadde agongobadde, asuzibwa wansi ku mukeeka, tawebwa byakulya ng’asemberedde okufa.

Okusinzira ku ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirwano Luke Owoyesigyire, abatuuze, bebasobodde okutemya ku Poliisi ng’omwana ali mu mbeera mbi era mu kiseera kino ssemaka Musasizi akumibwa ku Poliisi y’e Katwe ate omwana awereddwa amaka agalabirira abatalina mwasirizi.
Kigambibwa mukyala wa Musasizi yayawukana ne bba oluvanyuma lwa bba okulemererwa okulabirira amaka ge.