Poliisi e Nagalama erina abantu 4 mu kaduukulu ku by’okugingaginga Airtime owa Kampuni ya MTN ng’abalirwamu obukadde obusuuka mu 100, nga’badde atundibwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo. Abakwatiddwa kuliko Benin Biraaro, Robinson Muheki, Simon Bwambale ne Isaac Akankwatsa. Okusinzira ku Poliisi abantu abo okwattibwa, kidiridde okubalondola okumala emyeezi 7 era kigambibwa nti Airtime, bamukubira mu […]
Poliisi e Nagalama erina abantu 4 mu kaduukulu ku by’okugingaginga Airtime owa Kampuni ya MTN ng’abalirwamu obukadde obusuuka mu 100, nga’badde atundibwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.
Abakwatiddwa kuliko Benin Biraaro, Robinson Muheki, Simon Bwambale ne Isaac Akankwatsa.
Okusinzira ku Poliisi abantu abo okwattibwa, kidiridde okubalondola okumala emyeezi 7 era kigambibwa nti Airtime, bamukubira mu ggwanga erya DR Congo ne bayingira eggwanga lino nga beyambisa disitulikiti y’e Kanungu.
Abakwatiddwa baguddwako emisango egyenjawulo omuli obubbi, okufera era Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonya banaabwe, abasobodde okuduuka mu kikwekweeto.