Ssemaka aliira ku nsiko oluvanyuma lw’okutta mukyala we mu ntiisa mu mu disitulikiti y’e Kakumiro. Patrick Magara omutuuze we Mwitanzige mu ggombolola y’e Kisiita, bamuyigga ku by’okutta omukyala we Robina Katusiime olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 5, June, 2018. Kigambibwa ssemaka Magara yakubye mukyala we ku mutwe ekintu ekisongovu ne gwabika era nafirawo. Okusinzira ku […]
Ssemaka aliira ku nsiko oluvanyuma lw’okutta mukyala we mu ntiisa mu mu disitulikiti y’e Kakumiro.
Patrick Magara omutuuze we Mwitanzige mu ggombolola y’e Kisiita, bamuyigga ku by’okutta omukyala we Robina Katusiime olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 5, June, 2018.
Kigambibwa ssemaka Magara yakubye mukyala we ku mutwe ekintu ekisongovu ne gwabika era nafirawo.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, Julius Hakiza, omulambo gw’omukyala, guterekeddwa mu ggwanika lye ddwaaliro ekkulu e Kakumira nga Poliisi bw’egenda mu maaso n’okuyigga ssemaka Magara.
Hakiza agamba nti ssemaka Magara ne Katusiime baludde nga balina obutakaanya mu maka gabwe era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki omukyala yattiddwa.