VIDIYO! Bebe Cool awadde ensonga ezitiisa lwaki tasiiba, eri abawagizi, Omutonzi yasigadde okuyamba

©GALAXY

Kyaddaki omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa ennyo nga Bebe Cool awadde ezimu ku nsonga lwaki y’omu ku bayimbi abalina omutima omugabi n’okusingira ddala mu kiseera kino eky’ekisiibo. Bebe Cool musajja musiramu era mu kiseera kino yandibadde asiiba ng’abasiramu abalala kyoka agambye nti ye tayinza kusiiba kuba alina ekirwadde ekimulemesa. Mungeri y’emu agambye nti okusibulula abasiramu ayongedde […]


Kyaddaki omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa ennyo nga Bebe Cool awadde ezimu ku nsonga lwaki y’omu ku bayimbi abalina omutima omugabi n’okusingira ddala mu kiseera kino eky’ekisiibo.

Bebe Cool musajja musiramu era mu kiseera kino yandibadde asiiba ng’abasiramu abalala kyoka agambye nti ye tayinza kusiiba kuba alina ekirwadde ekimulemesa.

Mungeri y’emu agambye nti okusibulula abasiramu ayongedde okukiteekamu amaanyi kuba kigenda kumuyamba okufuna empeera mu kisiibo okuva eri Allah.

Bebe Cool
Bebe Cool

Bebe Cool mungeri y’emu atabukidde bannadiini abagobaganya abayimbi nti basasaanya obuseegu mu nnyambala, okusiba enviri n’okusingira ddala abasajja ennyimba ze bayimba n’engeri endala ezitakirizibwa basiramu.

https://www.youtube.com/watch?v=gjdSrrhLwpg