AUDIO! Pulezidenti Museveni anokoddeyo ensonga 6 lwaki bannayuganda bafa, akaboozi katabudde ababaka

©GALAXY

Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni anokoddeyo ezimu ku nsonga lwaki omuwendo gwa bannayuganda abafa gweyongedde obungi. Pulezidenti Museveni bwe yabadde eyogerako eri eggwanga olunnaku olw’eggulo ku Serena Hotel mu Kampala (State of the Nation Address) agamba nti abakyala okwagala ennyo abasajja, okulya ennyo emmere, omwenge, abasajja […]


Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni anokoddeyo ezimu ku nsonga lwaki omuwendo gwa bannayuganda abafa gweyongedde obungi.

Pulezidenti Museveni bwe yabadde eyogerako eri eggwanga olunnaku olw’eggulo ku Serena Hotel mu Kampala (State of the Nation Address) agamba nti abakyala okwagala ennyo abasajja, okulya ennyo emmere, omwenge, abasajja okugaanza buli mukyala, okwagala ennyo ssente, okuvuga endiima abalina emmotoka, zezimu ku nsonga lwaki abantu bangi nnyo bafudde.

Pulezidenti era awagidde okuteeka ebyuma ebitangira dereeva yenna okuvuga endiima (Speed Governor) kuba kigenda kuyamba nnyo okukendeza omuwendo gw’abantu abaafiira mu bubenje.