AUDIO! Jose Chameleone avuluze abayimbi bayuganda bonna, King Saha asigadde mu maziga

©GALAXY

Kyaddaki omuyimbi Jose Chameleone akakasiza nti mu Uganda tewali muyimbi yenna ayinza kumwenkana. Chameleone agamba nti mu Uganda abayimbi bangi nnyo abavuddeyo ne bawanibwa abawagizi kyoka bangi bagudde kuba balemeddwa okusigala nga bavuganya mu kisaawe ky’okuyimba. Ku nsonga eyo, anokoddeyo omuyimbi King Saha nti wadde akoze vidiyo enungi nnyo okumusinga, tayinza kumwenkana era singa bagenda […]


Kyaddaki omuyimbi Jose Chameleone akakasiza nti mu Uganda tewali muyimbi yenna ayinza kumwenkana.

Chameleone agamba nti mu Uganda abayimbi bangi nnyo abavuddeyo ne bawanibwa abawagizi kyoka bangi bagudde kuba balemeddwa okusigala nga bavuganya mu kisaawe ky’okuyimba.

Ku nsonga eyo, anokoddeyo omuyimbi King Saha nti wadde akoze vidiyo enungi nnyo okumusinga, tayinza kumwenkana era singa bagenda e Busabala ku kivvulu, King Saha ayinza okukaaba.

King Saha
King Saha

Mungeri y’emu agambye nti ye musajja asobodde okwetegekera okuva mu kuyimba, alina amaka, abaana basomera mu massomero amalungi ekiraga nti mu Uganda ye muyimbi asinga ebbeeyi, ekitiibwa era tewali muyimbi yenna ayinza kumwenkana.

https://www.youtube.com/watch?v=LAo48EBwBd0