KIBI NNYO! Omubaka Ibrahim Abiriga akubiddwa amasasi

©GALAXY

Ekiyongobero kibutikidde bannansi mu ggwanga lyona, omubaka wa Arua mu Palamenti, Ibarahim Abiriga bwakubiddwa amasasi agamutiddewo. Amasasi bagamukubidde, okumpi ne Energo fuel station e Kawanda okumpi n’amaka ge mu disitulikiti y’e Wakiso, akawungeenzi ka leero ku Lwokutaano (8, June, 2018) n’omukuumi we, era kigambibwa abakikoze, babadde ku bodaboda. Abiriga y’omu kwabo, abawagira ennyo enkyukakyuka mu […]


Ekiyongobero kibutikidde bannansi mu ggwanga lyona, omubaka wa Arua mu Palamenti, Ibarahim Abiriga bwakubiddwa amasasi agamutiddewo.
Amasasi bagamukubidde, okumpi ne Energo fuel station e Kawanda okumpi n’amaka ge mu disitulikiti y’e Wakiso, akawungeenzi ka leero ku Lwokutaano (8, June, 2018) n’omukuumi we, era kigambibwa abakikoze, babadde ku bodaboda.
Abiriga y’omu kwabo, abawagira ennyo enkyukakyuka mu sseemateeka w’eggwanga lino omwaka oguwedde ogwa 2017, okuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna ayagala obukulembeze w’eggwanga lino.
Yategeza nti Museveni yekka yasobola okulembera eggwanga lino, okutuusa ng’afudde, eggwanga okufuna omukulembeze omulala.
Mungeri y’emu, abadde amanyikiddwa ennyo ng’omusajja wa “Yellow” omuli okwambala engoye ezakyenvu, okuvira ddala ku nkofira, okutukira ddaala ku ngato.

 

Emmotoka ya Abiriga
Emmotoka ya Abiriga