TUBIKOOYE! Abakwatibwa ku by’okutta AIGP Kaweesi batabukidde Gav’t, bogedde ebikankana

©GALAXY

Omulamuzi wa kkooti e Nakawa olunnaku olw’eggulo, yagaanye okuwa ensala ye ku ky’okugyako emisango abantu abakwatibwa ku by’okutta, eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga AIGP Andrew Felix Kaweesi. Omulamuzi Noah Sajjabi agambye nti, tayinza kuwa nsala ye ng’ebiwandiiko ebimu byasindikibwa dda eri Ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP), okubyekenenya ate ng’alina okubyesigamako okuwa ensala ye. Mungeri y’emu […]


Omulamuzi wa kkooti e Nakawa olunnaku olw’eggulo, yagaanye okuwa ensala ye ku ky’okugyako emisango abantu abakwatibwa ku by’okutta, eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga AIGP Andrew Felix Kaweesi.

Omulamuzi Noah Sajjabi agambye nti, tayinza kuwa nsala ye ng’ebiwandiiko ebimu byasindikibwa dda eri Ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP), okubyekenenya ate ng’alina okubyesigamako okuwa ensala ye.

Mungeri y’emu oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Rachel Nabwire lutegezeza omulamuzi nti bbo, bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza.

Abamu ku bali bakwatiddwa ku by'okutta Kaweesi
Abamu ku bali bakwatiddwa ku by’okutta Kaweesi

Omulamuzi ayongezaayo okuwa ensala ye okutuusa nga 14, June, 2018.

Wabula munnamateeka w’oluddwa oluwawabirwa, Godfrey Turyamusiima asekeredde ebigenda mu maaso mu kkooti, nti byonna bigendereddwamu, kutyobola eddembe ly’abantu be.

Abali mu kkooti, abagala okugibwako emisango gy’obutujju, okutta n’okubba kuliko Abdu-Rashid Mbaziira, Yusuf Mugerwa, , Umar Baganda, Ahamada Senfuka, Hassan Tusiime, Ibrahim Kissa, Osman Mohamed, Hamidu Magambo.

Abalala kuliko Joshua Kyambadde, Sheikh Musa Ntende, Ali Mugoya, Asuman Mugoya n’abalala.

Kaweesi yattibwa nga 17, March, 2017, nga yakubwa amasasi agamuttirawo e kulambiro okumpi namaka ge era bamutta ne banne okuli omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva we Godfrey Mambewa.