Mu nsi yonna, buli muntu yenna ayagala nnyo okuzimba ku maka, okuwona okusindikirizibwa mu nju z’obupangisa. Wabula wadde bangi olw’embeera y’ensi balemererwa kyoka abadde omubaka w’e Arua mu Palamenti Ibrahim Abiriga abadde musajja mukozi nnyo era bagenze okumutta ng’alina amaka amalungi ddala ga mirundi ebiri. Abiriga abadde alina amaka e Kawanda ne mu kyalo mu […]
Mu nsi yonna, buli muntu yenna ayagala nnyo okuzimba ku maka, okuwona okusindikirizibwa mu nju z’obupangisa.

Wabula wadde bangi olw’embeera y’ensi balemererwa kyoka abadde omubaka w’e Arua mu Palamenti Ibrahim Abiriga abadde musajja mukozi nnyo era bagenze okumutta ng’alina amaka amalungi ddala ga mirundi ebiri.
Abiriga abadde alina amaka e Kawanda ne mu kyalo mu disitulikiti y’e Arua agali ku bwaguuga bwe ttaka.

Omugenzi Abiriga abadde musajja wa “Yellow” nnyo ng’ayagala nnyo ekibiina kye ekya National Resistance Movement (NRM) omuli okwambala engoye ezakyenvu n’amaka ge langi yakyenvu.

Abiriga yattiddwa ne muganda we Saidi Butele era abadde omukuumi we, nga bakubiddwa amasasi agabatiddewo okumpi ne Energo Fuel Station e Kawanda okumpi n’amaka g’e mu disitulikiti y’e Wakiso ku Lwokutaano akawungeenzi era wakuzikibwa olunnaku olwenkya ku Mmande nga 11, June, 2018 ku kyalo Rhino-camp, lower Madi disitulikiti y’e Arua.