Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kizza alumbaganye ebitongole ebikuuma ddembe obutakola kimala okukuuma bannansi mu ggwanga lino. Kizza bw’abadde mu Palamenti enkya ya leero mu kujjukira ebirungi ebikoleddwa Ibrahim Abiriga abadde omubaka wa Arua mu Palamenti n’okumukubako eriiso evvannyuma, agambye nti Poliisi eremeddwa okuvaayo n’alipoota ku bantu bonna abattiddwa nga bakubiddwa amasasi. […]
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kizza alumbaganye ebitongole ebikuuma ddembe obutakola kimala okukuuma bannansi mu ggwanga lino.
Kizza bw’abadde mu Palamenti enkya ya leero mu kujjukira ebirungi ebikoleddwa Ibrahim Abiriga abadde omubaka wa Arua mu Palamenti n’okumukubako eriiso evvannyuma, agambye nti Poliisi eremeddwa okuvaayo n’alipoota ku bantu bonna abattiddwa nga bakubiddwa amasasi.

Mukwogera kwe, Winnie Kizza anokoddeyo abantu abattiddwa kyoka Poliisi akyalemeddwa okufulumya alipoota zabwe okuli AIGP Andrew Felix Kaweesi, Joan Kagezi n’abalala era agambye nti ebitongole ebikuuma ddembe bitekeddwa okunoonyereza lwaki abantu battibwa okusinga okwerumaruma.
Mungeri y’emu agambye nti bakooye obulimba bw’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okusuubiza okuteeka kamera mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okutangira ebikolobero kyoka tewali kyali kikoleddwa.
Ku nsonga y’abakyala n’abaana okuttibwa, Winnie Kizza agambye nti Gavumenti yategeeza nti abakikola, bagala kusaddaka.
Mu Lungereza, Winnie Kizza asobodde okulambulula ensonga ze ” Many deaths have happened and the story has kept being “we shall install cameras” for women and children it was referred to as human sacrifice. Now it’s in the house. We should focus more on security cause these killings don’t know colours. People have been voting NRM because they can at least sleep. Unfortunately now sleep is just a privilege, and if you wakeup your not sure whether you will end the day”.
Abiriga yattiddwa ne muganda we Saidi Butele era abadde omukuumi we, nga bakubiddwa amasasi agabatiddewo okumpi ne Energo Fuel Station e Kawanda okumpi n’amaka g’e mu disitulikiti y’e Wakiso ku Lwokutaano akawungeenzi era wakuzikibwa olunnaku olwenkya ku Mmande nga 11, June, 2018 ku kyalo Rhino-camp, lower Madi disitulikiti y’e Arua.