Abantu 5 bafiriddewo mu kabenje akagudde ku kyalo Namayonjo, e Nakasongola ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu ku ssaawa nga 5 ez’ekiro, ekikeseza olwaleero Abafudde emirambo gyabwe, gitwaliddwa mu ggwanika lye ddwaaliro ly’amaggye erye Nakasongola n’abalumiziddwa basatu (3) mu ddwaaliro lye limu okufuna obujjanjabi. Akabenje kabaddemu emmotoka biri (2) okuli Toyota Hiace namba […]
Abantu 5 bafiriddewo mu kabenje akagudde ku kyalo Namayonjo, e Nakasongola ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu ku ssaawa nga 5 ez’ekiro, ekikeseza olwaleero
Abafudde emirambo gyabwe, gitwaliddwa mu ggwanika lye ddwaaliro ly’amaggye erye Nakasongola n’abalumiziddwa basatu (3) mu ddwaaliro lye limu okufuna obujjanjabi.
Akabenje kabaddemu emmotoka biri (2) okuli Toyota Hiace namba UBD 061D eya Pepsi Cola ‘Twangula promotion ne Pick-Up namba UAX 182F ebadde etiise enkoko ne bodaboda emu era abafudde kuliko ab’oluganda babiri okuli Ivan Buyinza ne Bernard Bakobe Ssekeba, nga bonna batuuze ku kyalo Namayonjo era babadde batambulira ku bodaboda okuva mu katawuni k’e Wabigalo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Paul Kangave, akabenje kavudde ku mmotoka Toyota Hiace ebadde ewenyuka obuweewo netomera bodaboda oluvanyuma neyingirira Pick-Up.