KITALO! Omukyala asse bba namwezikira mu nkukutu, entabwe byabugagga

©GALAXY

Poliisi ekutte omukyala atemera mu gy’obukulu 45 ku by’okutta bba namwezikira mu nkukutu mu disitulikiti y’e Ibanda. Dinah Ainomugisha yakwattiddwa, ku by’okutta bba, Gordon Ahimbisibwe. Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Ibanda, Rogers Chebene, omukyala Ainomugisha, mutuuze ku kyalo Mabonwa mu ggombolola y’e Rukiri, yekobaana ne mikwano gye, mu febwali wa 2018, okutta bba nga […]


Poliisi ekutte omukyala atemera mu gy’obukulu 45 ku by’okutta bba namwezikira mu nkukutu mu disitulikiti y’e Ibanda.

Dinah Ainomugisha yakwattiddwa, ku by’okutta bba, Gordon Ahimbisibwe.

Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Ibanda, Rogers Chebene, omukyala Ainomugisha, mutuuze ku kyalo Mabonwa mu ggombolola y’e Rukiri, yekobaana ne mikwano gye, mu febwali wa 2018, okutta bba nga kivudde ku butakaanya ku ttaka n’okwediza eby’obugagga era abadde ayigibwa.

Abalala abakwattiddwa mikwano gy’omukyala kuliko Experito Kacunguza, Stephen Mukama, Medrine Kabasitah ne Mwesigye era bonna baguddwako omisango egyenjawulo.

Kigambibwa, abenyigira mu kutemula omusajja buli omu baamuwa ssente emitwalo 20.

DPC Chebene agambye nti omulambo baguzikuddeyo era Poliisi etandiise okunoonyereza.