Omulamuzi wa kkooti y’e Luweero sabiti eno ku Lwokuna (14, June, 2018), Awid Suzan yakaliga Manejja wa Goodlyfe Kyagambidwa Geoffrey amanyikiddwa nga Chagga emyezi 6 oba okusasula shs 18,272,000 ezibanjibwa lwa kugaana kuyimba mu kivvulu nga basasuddwa era yasindikiddwa mu kkomera rye Butuntumula ate omuyimbi Weasel Manizo aliira ku nsiko mu kiseera kino. Manejja Chagga […]
Omulamuzi wa kkooti y’e Luweero sabiti eno ku Lwokuna (14, June, 2018), Awid Suzan yakaliga Manejja wa Goodlyfe Kyagambidwa Geoffrey amanyikiddwa nga Chagga emyezi 6 oba okusasula shs 18,272,000 ezibanjibwa lwa kugaana kuyimba mu kivvulu nga basasuddwa era yasindikiddwa mu kkomera rye Butuntumula ate omuyimbi Weasel Manizo aliira ku nsiko mu kiseera kino.

Manejja Chagga yakwatibwa oluvannyuma lwa Paul Kaliba, omutegesi w’ebivvulu okwekubira enduulu mu kkooti, olw’abayimbi ba Goodlyfe okumwefuulira ne bagaana okuyimba ku kivvulu ke yali ategese mu ppaaka e Luwero n’awalirizibwa okukisazaamu ku ssaawa esembayo nga 25, Desemba, 2017.
Kaliba agamba nti bakola endagano ne Goodlyfe ng’ateekeddwa okusasula Moze Radio (kati omugenzi), Weasel ne Chagga obukadde 5 ne mitwalo (5,500,000) era nabawaako obukadde 2 n’emitwalo 60 (shs 2, 600,000), okuyimba ku kivvulu kye mu ppaaka e Luweero ku Ssekukkulu kyoka bagaana.

Mu kiseera kino, Kaliba agamba nti ensonga zatuuse dda mu kkooti era Chagga ali mu kkomera ate Weasel aliira ku nsiko kuba kkooti y’e Luweero yayisiza ekibaluwa kibakuntumye akwatibwe.
Wabula abayimbi okuli King Saha, Bobi Wine, Jose Chameleone, Mesach Ssemakula n’abalala beegayiridde Kaliba okuyimbula Chagga, addemu okutekateeka ekivvulu bayimbe asobole okufuna ssente ze kyoka Kaliba akyagaanye.