Omuyimbi Chris Evans yafiriddwa taata we omutto abadde omutuuuze ku kyalo Kajjansi, Nakigalala mu Disitulikiti y’e Wakiso. Benard Ssonko abadde etemera mu gy’obukulu 70 y’agudde mu kaabuyonjo y’awaka bwe yabadde agenze okweyamba. Okusinzira ku batuuze, kaabuyonjo okuggwamu kiteeberezebwa nti kyavudde ku nnamutikwa w’enkuba eyatonnye okumala ennaku bbiri mu kitundu kyabwe, amazzi ne gayingira mu seminti […]
Omuyimbi Chris Evans yafiriddwa taata we omutto abadde omutuuuze ku kyalo Kajjansi, Nakigalala mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Benard Ssonko abadde etemera mu gy’obukulu 70 y’agudde mu kaabuyonjo y’awaka bwe yabadde agenze okweyamba.

Okusinzira ku batuuze, kaabuyonjo okuggwamu kiteeberezebwa nti kyavudde ku nnamutikwa w’enkuba eyatonnye okumala ennaku bbiri mu kitundu kyabwe, amazzi ne gayingira mu seminti n’anafuwa yenna.
Poliisi okuva e Kajjansi yazze n’ennyulula omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago gye gwagiddwa ne guziikibwa ku kyalo Makandwa oluvanyuma lwa batuuze okulemererwa okutaasa obulamu bw’omukadde Ssonko.