LWAKI SSEBO! Okukwatibwa kwa Gen Kale Kayihura, Ababaka ba Palamenti besuunze Pulezidenti Museveni olwaleero

©GALAXY

Ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, olunnaku olwaleero wakudda mu Palamenti okuddamu okutangaza ku nsonga z’ebyokwerinda. Sabiti ewedde ku Lwokusatu nga 20, June, 2018, ababaka ba Palamenti bakiriza Mukulu Museveni okulambika ensonga ezaali mu 10, ezikwata ku byokwerinda omwali okuwandiisa emmundu zonna mu bitongole byokwerinda n’eziri mu bantu, okuteeka kamera […]


Ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, olunnaku olwaleero wakudda mu Palamenti okuddamu okutangaza ku nsonga z’ebyokwerinda.

Sabiti ewedde ku Lwokusatu nga 20, June, 2018, ababaka ba Palamenti bakiriza Mukulu Museveni okulambika ensonga ezaali mu 10, ezikwata ku byokwerinda omwali okuwandiisa emmundu zonna mu bitongole byokwerinda n’eziri mu bantu, okuteeka kamera mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, okuwera kwambala jaketi eziriko ebikofira ku mutwe eri abantu bonna abavuga bodaboda, okutongoza Helementi ezitekeddwako enamba, okuleeta ekyuma ekyekeneenya endaga butonde, okuzaawo ekitongole ekirwanyisa abazibu b’emmundu ekya Flying squad n’ensonga endala.

Wabula bangi ku babaka ba Palameti, tebaamatira n’ensonga za Pulezidenti Museveni era olunnaku olwaleero, bagenda kukirizibwa okubuuza Museveni ensonga zabwe ezikwata ku byokwerinda.

Ssipiika wa Palamenti Rebbecca Kadaga agambye nti asuubira ababaka ba Palamenti okwanjula ensonga zabwe ezigenda okuyamba okutebenkeza ebyokwerinda.

Gen Kale Kayihura
Gen Kale Kayihura

Bangi ku babaka ba Palamenti, bagala omukulembeze w’eggwanga okwanukula lwaki Gen Kale Kayihura eyali adduumira Poliisi mu ggwanga lino yakwatibwa era lwaki tebamutwala mu kkooti.