Bya Nalule Aminah Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga lino, kalangiridde olunnaku olw’okulonda omubaka wa Paalamenti omugya, okukirira abantu ba Arua, mu lukiiko lw’eggwanga olukulu. Okulonda okudibwamu, kidiridde, eyali omubaka w’ekitundu ekyo, Ibrahim Abiriga okuttibwa ne muto we Saidi Butele Congo era eyali o mukuumi we, nga bonna battibwa ne byasi ne bafiirawo nga 8, June, 2018, […]
Bya Nalule Aminah
Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga lino, kalangiridde olunnaku olw’okulonda omubaka wa Paalamenti omugya, okukirira abantu ba Arua, mu lukiiko lw’eggwanga olukulu.
Okulonda okudibwamu, kidiridde, eyali omubaka w’ekitundu ekyo, Ibrahim Abiriga okuttibwa ne muto we Saidi Butele Congo era eyali o mukuumi we, nga bonna battibwa ne byasi ne bafiirawo nga 8, June, 2018, Kawanda nga bagenda awaka.

Enkya ya leero, ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda, omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama, alangiridde nga 15, August, 2018, okulonda okudibwamu.
Mungeri y’emu agambye nti abagala okuvuganya, bagenda kwewandiisa nga 19-20, July, 2018 ku kitebe kya disitulikiti ya Arua.