GEN AKABIZZA GEN AMAZIGA! Yiino “AUDIO” enkambwe, Pulezidenti Museveni awadde ensonga ezitiisa lwaki Gen Kayihura yakwatibwa

©GALAXY

Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni abikudde ekyama kyavirako Gen Kale Kayihura eyali adduumira Poliisi mu ggwanga lino, okwattibwa. Gen Kayihura yakwatibwa dda okuva mu maka g’e Kasagama mu ggombolola y’e Kasagama mu disitulikiti y’e Lyantonde ku biragiro bya Gen David Muhoozi adduumira amaggye mu ggwanga lino era mu kiseera kino ali mu mikono […]


Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino, Yoweri Kaguta Museveni abikudde ekyama kyavirako Gen Kale Kayihura eyali adduumira Poliisi mu ggwanga lino, okwattibwa.

Gen Kayihura yakwatibwa dda okuva mu maka g’e Kasagama mu ggombolola y’e Kasagama mu disitulikiti y’e Lyantonde ku biragiro bya Gen David Muhoozi adduumira amaggye mu ggwanga lino era mu kiseera kino ali mu mikono gy’amaggye nga n’emisango egimuvunanibwa tegimanyiddwa.

Gen Kale Kayihura
Gen Kale Kayihura

Wabula omukulembeze w’eggwanga Museveni agamba nti, Gen Kayihura mu kiseera nga aky’adduumira Poliisi mu ggwanga lino, emirimu gye abadde agitambuliza mu nsawo ye, omuli okusanyawo emitendera mu kitongole kya Poliisi, okutambuza emirimu gye mu ngeri emenya amateeka omuli okusembeza abantu babuligyo mu kitongole kya Poliisi nasulawo abasirikale abatendeke abateekeddwa okutambuza emirimu.

Bettinga Owangule nehttps://www.kagwirawo.co.ug//

Ekyama kino kibikuddwa Hassan Kaps Fungaroo omubaka w’e Obongi mu Paalamenti, omu kwabo abeetabye mu kubuuza Pulezidenti Museveni, ebibuuzo ebikwata ku byokwerinda olunnaku olw’eggulo mu offiisi ya Ssabaminisita mu Kampala okumpi ne Paalamenti, omutakiriziddwa bannamawulire.

Gen Kale Kayihura y’ani?

Gen Kale Kayihura
Gen Kale Kayihura

Yazaalibwa 26, Desemba, 1955 mu disitulikiti y’e Kisoro era amannya ge mu bujjuvu ye Edward Kalekezi Kayihura Muhwezi. Kitaawe ye mugenzi John Komuluyange Kalekezi eyaffira mu kabenje ’ennyonnyi e Kiev mu Ukraine nga 17, August, 1960 ate nnyina wa Kayihura ye Catherine Mukarwamo eyafa mu 2012.

Gen Kayihura yasomera mu Gasiza Primary School e Kisoro gye yava okudda mu Buhinga Primary School mu disitulikiti y’e Kabarole ne Mutolere Secondary School, gye yamalira S4.

Gen Kayihura mu 1974, yeegatta ku St. Mary’s College Kisubi okusoma Haaya ng’eno gye yava okugenda e Makerere mu Yunivasite okusoma diguli mu mateeka.

Yatikkirwa diguli mu mateeka mu 1978 n’agenda e Bungereza mu London School of Economics gye yatikkirwa diguli eyookubiri mu mateeka mu 1982 nga wa myaka 27 gyokka.

Olwava e Bungereza, Kayihura yayingira ensiko e Luweero mu lutalo lwa NRA olw’ekiyeekera mu 1983 n’ayamba mu kuwamba gavumenti mu 1986.

Mu 2005, Gen Kayihura yalondebwa okudda mu bigere bya Gen Edward Katumba Wamala okuddumira Poliisi mu ggwanga lino.