KAWEDDEMU! Abadde yeeyita IGP Martin Okoth Ochola n’afera abantu ssente aggaliddwa

©GALAXY

Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde yeyita ssaabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola ku mutimbagano gwa Facebook n’anyaga abantu ssente. Kalele Geoffrey omutuuze mu Disitulikiti y’e Namutumba yakwatiddwa ku by’okufera abantu ku mutimbagano gwa Facebook ng’abasubizza, okubawa emirimu mu kitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi era abamu ne bamusindikira ssente. Mu kiseera kino, omukwate […]


Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde yeyita ssaabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola ku mutimbagano gwa Facebook n’anyaga abantu ssente.

Kalele Geoffrey omutuuze mu Disitulikiti y’e Namutumba yakwatiddwa ku by’okufera abantu ku mutimbagano gwa Facebook ng’abasubizza, okubawa emirimu mu kitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi era abamu ne bamusindikira ssente.

Mu kiseera kino, omukwate ali Poliisi ya Jinja Road mu Kampala ku misango gy’okwefuula kyatali.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, poliisi etandiise okunoonyereza era akowodde abantu bonna abafereddwa okuvaayo okuleeta obujjulizi okusobola okutwala Kalele mu kkooti.

Martin Okoth-Ochola
Martin Okoth-Ochola

IGP Martin Okoth Ochola yalondebwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okudda mu bigere bya Gen Kale Kayihura mu March, 2018.