Ensisi ebutikidde abatuuze ku kyalo Kitemi mu ggombolola y’e Bamunanika mu disitulikiti y’e Luweero, ssemaka Alex Nsamba bwe yatemeddwako omutwe nga beyambisa ejjambiya mu kiro, ekyakeseza olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna. Nsamba bamutidde ku kitanda kye era kigambibwa nti omutemu yabadde yekwese wansi w’ekitanda navaayo ekiro n’amutta ku ssaawa nga 7 e’zekiro. Okusinzira ku mwogezi wa […]
Ensisi ebutikidde abatuuze ku kyalo Kitemi mu ggombolola y’e Bamunanika mu disitulikiti y’e Luweero, ssemaka Alex Nsamba bwe yatemeddwako omutwe nga beyambisa ejjambiya mu kiro, ekyakeseza olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna.
Nsamba bamutidde ku kitanda kye era kigambibwa nti omutemu yabadde yekwese wansi w’ekitanda navaayo ekiro n’amutta ku ssaawa nga 7 e’zekiro.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah, Paul Kangave obutakaanya ku ttaka y’emu ku nsonga lwaki Nsamba attiddwa kyoka mu kiseera kino, kalibutemu aliira ku nsiko.
Kangave era agambye nti omugenzi Nsamba abadde yagula ettaka okutandiika okuzimba ekitasanyusa mukwano gwe God Ssemuwaya era kigambibwa nti yeyakoze ettemu eryo.
Okusinzira ku batuuze, omutemu yayingidde mu nnyumba nga Nsamba agenze kulaba mupiira gwa World Cup era ng’amulindidde wansi wa kitanda wabula Kangave agambye nti Poliisi egenda kukola kyona ekisoboka okukwata omutemu era avunanibwe.