HAKUNA MICHEZO! Omusolo ku Facebook, WhatsApp gutandise leero

©GALAXY

Emisolo ku mikutu egy’empuliziganya omuli Facebook, WhatsApp, Twitter, Instagram, Skype n’emirala gutandise enkya ya leero gwa shs 200/- buli lunnaku eri abantu bonna abagala okugyeyambisa. Olunnaku olwaleero, Kkampuni z’ebyempuliziganya okuli Airtel, MTN ne Africell tezikiriza muntu yenna kugenda ku mikuyu egyo nga tawaddeyo shs 200 ezatekeddwawo Gavumenti ng’omusolo. Bannanyini mikutu egyo bategezeza nti “Oyo yekka […]


Emisolo ku mikutu egy’empuliziganya omuli Facebook, WhatsApp, Twitter, Instagram, Skype n’emirala gutandise enkya ya leero gwa shs 200/- buli lunnaku eri abantu bonna abagala okugyeyambisa.

Olunnaku olwaleero, Kkampuni z’ebyempuliziganya okuli Airtel, MTN ne Africell tezikiriza muntu yenna kugenda ku mikuyu egyo nga tawaddeyo shs 200 ezatekeddwawo Gavumenti ng’omusolo.

Bannanyini mikutu egyo bategezeza nti “Oyo yekka anaasasula 200/- buli lunaku nga y’asobola okukozesa emikutu gino. Omusolo guno, gusobola okusasulwa buli lunaku (200/-), oba okusasula 1,400/- eza wiiki oba 6,000/- omwezi, Bakasitooma aba Airtel basobola okusasula nga banyiga *185*2*5# ate aba MTN banyiga *165*2*5# ku ssimu zaabwe so nga aba Africell basobola okweyambisa Airtel money oba MTN mobile money”.

Okusinzira ku bakulu mu Gavumenti okusolo gwa shs 200 gugenda kuyambako okutangira abantu okugyeyambisa mu ngeri emenya amateeka.