OMUZIMU GUTABUSE! Poliisi ekutte 4 ku by’okutta omukadde myaka 70, bazudde ebiziti ebijjudde omusaayi

©GALAXY

Poliisi ekutte abantu 4 ku by’okutta omukadde Tereza Ziribaggwa myaka 70 eyali omutuuze w’e Mugongo A Kyengera Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso. Omulambo gwa Ziribaggwa gwasangibwa wabweru w’amaka ge nga gutemeddwatemeddwa nga guli mu kitaba kya musaayi nga 25, June, 2018 era Poliisi yasobola okuzuula ejjambiya abatemu gye bakosesa okutta Ziribaggwa. Mu kiseera kino […]


Poliisi ekutte abantu 4 ku by’okutta omukadde Tereza Ziribaggwa myaka 70 eyali omutuuze w’e Mugongo A Kyengera Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso.

Omulambo gwa Ziribaggwa gwasangibwa wabweru w’amaka ge nga gutemeddwatemeddwa nga guli mu kitaba kya musaayi nga 25, June, 2018 era Poliisi yasobola okuzuula ejjambiya abatemu gye bakosesa okutta Ziribaggwa.

Mu kiseera kino abakwatiddwa ku by’okutta omukadde Ziribaggwa kuliko Paul Mayanja 35, Denis Luburwa 40, Charles Nsubuga 47 ne Dinah Tino aged 32.

Ebimu ku bizibiti
Ebimu ku bizibiti

Mungeri y’emu Poliisi egamba nti Omukyala Tino yasaangiddwa n’ebintu by’omugeenzi omuli engoye, akasawo k’abakyala ak’omu ngalo, omufaliso n’akabokisi ka ssente omukadde mwabadde atereka ssente era mwasangiddwamu emitwalo 6 (60000/-).

Ebimu ku bizibiti (ejjambiya)
Ebimu ku bizibiti (ejjambiya)

Ate mu maka g’omusajja Mayanja mwasangiddwamu engoye eziriko omusaayi era kiteberezebwa nti zeyalimu mu kutta omukadde.

Abakwate bali ku Poliisi e Kyengera.