Kkooti enkulu mu Kampala egaanye okuyimbula Yusuf Nyanzi eyakwatibwa ku misango egyenjawulo. Nyanzi yakwatibwa ku misango gy’okutta Major Muhammad Kiggundu n’omukuumi we Steven Mukasa n’eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we Kenneth Erau ne Dereeva we Godfrey Mambewa. Mungeri y’emu Nyanzi yagulwako emisango egyenjawulo omuli, obutujju, okuyambako abatujju, obutemu, okwenyigira mu […]
Kkooti enkulu mu Kampala egaanye okuyimbula Yusuf Nyanzi eyakwatibwa ku misango egyenjawulo.
Nyanzi yakwatibwa ku misango gy’okutta Major Muhammad Kiggundu n’omukuumi we Steven Mukasa n’eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we Kenneth Erau ne Dereeva we Godfrey Mambewa.
Mungeri y’emu Nyanzi yagulwako emisango egyenjawulo omuli, obutujju, okuyambako abatujju, obutemu, okwenyigira mu kubba n’emisango emirala.
Nyanzi ng’ayita mu bannamateeka be nga bakulembeddwamu Anthony Wameli, yaduumira mu kkooti okusaba okweyimirirwa kuba musajja alina obuvunanyizibwa ng’alina amaka gateekeddwa okulabirira, mu kkomera baamutulugunya, musajja mulwadde ate aludde ku limanda ekiraga nti Gavumenti eremeddwa okunoonyereza ku misango egimuvunanibwa.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Marion Ben Bella lusabye omulamuzi Jane Persis Kiggundu obutayimbula Nyanzi kuba singa kikolebwa, tebalina gye bagenda kumusanga kuba talina amaka matongole ate emisango egimuvunanibwa gyannaggomola.
Omulamuzi naye agaanye okuyimbula Nyanzi kuba talina maka matongole, alemeddwa okumatiza kkooti nti mulwadde wadde yakwatibwa nga 18, April, 2017.
Mungeri y’emu omulamuzi alagidde kkooti okwanguyiriza okuwuliriza emisango gya Nyanzi.